OKUGEZESEBWA N'EBIZIBU (#6287)

Omalewo obuyinike bwange olw'ekisa Kyo n'obugabi Bwo, Ayi Katonda, Katonda wange, era ogobere wala okunyolwa kwange nga oyita mu maanyi Go n’obuyinza Bwo.  Ayi Katonda wange, ondaba Ggwe nga amaaso gange ngatunuzza eri Ggwe mu kiseera obuyinike we bunneetoololedde ku buli ludda.  Nkwegayirira Ggwe, Ayi Ggwe Mukama w’obulamu bwonna, era amaamidde ebintu byonna ebirabika n'ebitalabika, ku lw'Erinnya Lyo mw’owangulidde emitima n'emyoyo gy'abantu, era ne ku lw'amayengo ga Ssemayanja w'okusaasira Kwo era n'ebirungi by'Enjuba y'ekisa Kyo, ombalire mu abo abatalina kyonna ekiyinza okubaziyiza okukyusa amaaso gaabwe bakwekalirize Ggwe, Ayi Ggwe Mukama ow'amannya gonna era Omutonzi w’ensi zonna.
Ayi Mukama wange, Ggwe olabira ddala ebintu ebintuseeko mu nnaku Zo.  Nkwegayirira ku lw'Oyo Ensibuko y'amannya Go era Emmambya y’obubonero Bwo, ongerekere ekyo ekinansobozesa okugolokoka okukuweereza Ggwe era n'okutendereza empisa Zo.  Ddaladdala Ggwe Ayinza-byonna, Owaamaanyi Asingira ddala, Oyo Omwetegefu okuddamu essaala z'abantu bonna! 
Era, n’ekisembayo nkwegayirira Ggwe ku lw'ekitangaala ky'obwenyi Bwo owe emirimu gyange omukisa, era n’okusasula amabanja gange, n’okumpa ebyo bye nneetaaga.  Ggwe y’Oyo Owoobwakabaka buli lulimi gwe buwaddeko obujulirwa, n’ekitiibwa Kye n'obuyinza Bwe buli mutima omutegeevu gwe gukakasizza.  Teri Katonda okuggyako Ggwe, Oyo awulira era Omwetegefu okwanukula.

-Bahá'u'lláh
-----------------------

OKUGEZESEBWA N'EBIZIBU (#6288)

Nkulaajanira Ggwe ku lw’obuyinza Bwo, Ayi Katonda wange!  Oleme okukkiriza akabi konna okuntuukako mu biseera eby’okugezesebwa, era ne mu biseera eby’obutafaayo luŋŋamya bulungi ebigere byange nga oyita mu kuluŋŋamizibwa Kwo.  Ggwe Katonda, Ggwe Owaamaanyi okukola kyonna Ggwe ky’oyagala.  Teri n’omu ayinza okuziyiza Ekyo Ggwe ky’Oyagala kibeere oba okuziyiza Ekigendererwa Kyo.

-The Báb
-----------------------

OKUGEZESEBWA N'EBIZIBU (#6289)

Ayi Mukama! Ggwe Mujjuluzi wa buli buyinike era Omgobi wa buli kubonaabona kwonna.  Ye Ggwe Oyo agoba buli buyinike era anunula buli muddu, Omununuzi wa buli muntu.  Ayi Mukama! Ondokole nga oyita mu kusaasira Kwo era ombalire wakati mu baddu Bo nga abo abalokoleddwa.

-The Báb
-----------------------

